Paroles en chanson Générateur de Paroles Tarification Mes chansons

Ape

Song generated By ✨LyricsintoSong.com

Song Cover
v1

@ lj johndrop peyton

2026-05-21 08:24:13

Paroles

Ape rap

Bwebansanga ku street
Nemu ghetto gyempowa
Bangi bampita omuyaye
Naye mazima ndi mwoyo ogwetiise mutima ogumenyese…
wulira bino…
(Verse 1)
Nazalibwa nga abaalala
Era maama wange
bamukulisa omwana
Webuuze kaapa efuuka etya omuyayu
Taata yakubanga nyo maama
maama neyefuunila omuubezi omulala
Ye nga tayagala kumanya
Nakula n’obulumi
Nga oluusi tuusiba ne tusuula
Enjala
Nseka ku maaso
Naye Obulumi bungi munda
Naye buli kiro mbuuza nti
“ lwaki nze ?”
Nga baala balya
endaala nebayiwa
Nakilaba nga system Gyetulimu
ye kyamu
abaamu twakulila ku street
survival by the fittest
Tulinga nsolo
Kati bansalira omusango
bagamba sili muteefu
Naye tebamanyi bulumi
bwe nayitamu


(Pre-Chorus)
Bampita Omuubi
Bampite muyayuu
Ndi mwoyo gwasaaga ennaku
Sasaba bulamu buno bwendiimu

(Chorus)

Ebiwundu bingi
Buli kuseka kulimu obulumi
Buli “ndi bulungi” kuba kwekweka
Ndwana n’emizimu mu kizikiza
Omutima gwange
bwe gulabika nga gukakanyavu
Kubanga ensi tempisiza bulungi

(Verse 2)
Bwemba nonya scrap
Nebikyupa
Abantu balaba busungu bwokka
So si mwana ali yekka
Nali mwesigwa bo balaba obulimba
Kati mutima gwange gujjudde ebyayokebwa
Obusimu bunyakuula
obusawo buteengula
ye skill gyenayiga
gyenakuulila
Temunenya munenye system
eyandekererela

(Bridge)
Oboolyawo nandi baande doctor
Oboolyawo nandi baande mulimi
nenima lumonde


(Chorus)
Ebiwundu bingi
Buli kuseka kulimu obulumi
Buli “ndi bulungi” kuba kwekweka
Ndwana n’emizimu mu kizikiza
Omutima gwange
bwe gulabika nga gukakanyavu
Kubanga ensi tempisiza bulungi

(pre-Chorus)
Bampita Omuubi
Bampite muyayuu
Ndi mwoyo gwasaaga ennaku
Sasaba bulamu buno bwendiimu

(Outro)
Nga tonnansalira musango…
Sooka obuuze kye nayitamu…
Abantu abamu si babi…
Baba bamennyese munda…
Yeah…
Ape Rap

Style de Musique

Hip Hop