Bwebansanga ku street
Nemu ghetto gyempowa
Bangi bampita omuyaye
Naye mazima ndi mwoyo ogwetiise mutima ogumenyese…
wulira bino…
(Verse 1)
Nazalibwa nga abaalala
Era maama wange
bamukulisa omwana
Webuuze kaapa efuuka etya omuyayu
Taata yakubanga nyo maama
maama neyefuunila omuubezi omulala
Ye nga tayagala kumanya
Nakula n’obulumi
Nga oluusi tuusiba ne tusuula
Enjala
Nseka ku maaso
Naye Obulumi bungi munda
Naye buli kiro mbuuza nti
“ lwaki nze ?”
Nga baala balya
endaala nebayiwa
Nakilaba nga system Gyetulimu
ye kyamu
abaamu twakulila ku street
survival by the fittest
Tulinga nsolo
Kati bansalira omusango
bagamba sili muteefu
Naye tebamanyi bulumi
bwe nayitamu